Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 501 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Abasirikale ba Poliisi basindikiddwa ku limanda e Luzira ku musango gw’okutulugunya wamu n’okulumya meeya we Kamwenge

May 27, 2017 · Mubiru Ali

Abasirikale ba Poliisi bana basindikiddwa ku limanda e Luzira ku musango gw’okutulugunya wamu n’okulumya meeya we Kamwenge Goeofrey Byamukama eyakwatibwa okuva ku minisitule y’ebyettaka mu Kampala ku bigambibwa nti yandiba nga yalina omukono mu kuttibwa kwa AIGP Felix Kaweesi.

Abavunaanibwa kuliko D/ASP Patrrick Muramira, D/ASP Fred Tumuhairwe, Habib Roma ne Ben Odeke abasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkoti ya Buganda Road Jamson Karemani nebasomebwa emisango ebiri okuli okutulugunya wamu n’okutuusa ebisago ebyamaanyi ku muntu.

Omuwaabi wa Gavumenti Nelly Asiku agamba nti bano nga 5 – April bakwata Meeya we Kamwenge okuva mu ofiisi ya Kamisona w’ebyettaka William Turyomurugeyndo nga beyambisa obutayimbwa ne miggo bakuba Byamukama nebatuuka okumukuulamu obukongovule n’amaviivi.

Kigambibwa nti bano bakola bino nga batambulira mu motoka nnamba UAT 460Y.

Ababawabirwa begaanye emisango era nebasindikibwa ku limanda e Luzira okutuusa nga 30 – May – 2017.