Breaking
News: Tamale Aloysius aka Young Mulo ne munne Mugisha JohnBosco baweereddwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 150 lwakutta bavuzi ba booda booda nokubba News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 314 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

abasirikale ba poliisi bagudde mu nnyanja

February 23, 2019 · Mubiru Ali

Abasirikale ba Poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu gyabwe  mu ttumbi bwe lyebbise mu nnyanja Nalubaale bano kuliko; Stella Akello, Gerald Mageno, Ceasar Okolle, Godwin  Oplot ne Innocent Oluke.

Bino bibadde  mu bwengula bw’ennyanja Nalubaale ku ssaawa 9:00 (mwenda ez’ekiro) abaserikale ba poliisi erawuna amazzi bwe baaguddemu olw’embeera y’obudde etabangudde ennyanja kyokka ne bakozesa obukugu  ne bawugira  essaawa bbiri nnamba ne batuuka ku lukalu ne bawonya obulamu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango yagambye nti akabenje kituufu kaabaddewo okumpi n’omwalo gw’e Katosi mu Kyaggwe eryato bwe lyefudde olw’enkuba eyabadde efukumuka.

Wabula we baatuukidde ku lukalu ng’abasatu amaanyi gabawedde olw’embeera y’obukoowu n’obunnyogovu eyabaddewo era baatwaliddwa mu  ddwaaliro e Kiruddu mu Kampala kyokka nga babadde tebannasibulwa.