Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 315 listening Simba FM Live

Abasirikale ba Poliisi babiri bagobeddwa mu Poliisi

July 18, 2020 · Mubiru Ali
Akakiiko ka Uganda Police Force akakwasisa empisa kawozesezza omusirikale wa Poliisi okuva mu Kitongole kya Traffic Sergent Ssessanga Ibrahim. Ono yakalidde mu ba Kakiiko bwebabadde bamubuuza annyonyole lwaki yagaana okuddiza Hussein Walugembe Piki piki ye natuuka n’okumuleka neyekumako omuliro natuuka okufiira mu offiisi ye so nga yali akimulalise.
Ono yayambalidde Ssentebe w’Akakiiko kano ACP Manzi David namugamba asooke anenye Basirikale banne abakuuma ku mulyango oguyingira ku Poliisi, wamu n’abo abo ku mmeeza awatuukira abagenyi weyayita okumutuukako.
Ono olwaleero bwabuziddwa ku bujulizi obwamuweereddwako abantu 4 olunaku lw’eggulo omwabadde ne Sergent Ewalu Julius agambye nti oyo ye alina ebizibu bye era yayagadde kumuwayiriza kyokka nasaba kkooti ereme kumuwanda bigambo mu kamwa.
Oluvannyuma Akakiiko kano kasazeewo okugoba Sergent Ssessanga Ibrahim wamu ne Sergent Ewalu Julius mu Poliisi era nebaweebwa enaku 14 okujjulira bwebaba tebamatidde nansala.