Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 135 listening Simba FM Live

ABASIRIKALE BA POLIISI 6 BASIMATUSE OKUFIIRA MU KABENJE E MASAKA

October 1, 2021 · Mubiru Ali
Abasirikale ba Uganda Police Force 6 e Masaka basimatuse okufiira mu kabenje emotoka ya Poliisi enawunyi kwebabadde batambulira ebadde ewenyuuka obuweewo ku luguudo lwa Masaka-Kidda ku kyalo kidda bweremeredde omugoba waayo nagikuba ekigwo.
Emotoka eno nnamba UP 5561 kigambibwa nti ebadde egoba emotoka egaanye okuyimirira ku misanvu gya Poliisi nga kika kya Toyota Premio.
Babiri ku basirikale bano balumiziddwa byansusso ate abalala nebafuna ebisago ebitonotono nga bonna baddusiddwa mu Ddwaliro ly’e Masaka okufuna obujanjabi.
Omwgezi wa Poliisi mu bitundu ebyo Muhamad Nsubuga, akakasizza akabenje kano wabula nategeeza nti babadde tebagoba motoka egaanye kuyimirira nti wabula emotoka egaanye okusiba bwetyo neremerera omugoba waayo kwekugwa.