Abasirikale ba Poliisi 3097 bakuziddwa

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Omuduumizi wa Poliisi ya Yuganda IGP Martins Okoth Ochola bwakuzizza abasirikale 3097 mu Poliisi ku maddaala agenjawulo okuli: Inspector of Police, (IP), Assistant Inspector of Police, (AIP) Sergeant (SGT) ne corporal (CPL).
Abasirikale abakuziddwa 2566 basajja, n’abakyala 531 nga asinzidde ku bwerufu bwabwe, okwewaayo okuweereza mu bulambulukufu, amazima n’ebirala.
Ayongeddeko nti abalala abakuziddwa basinzidde ku buweereza bwabwe, obuvunaanyizibwa bwebalina kati mu Poliisi, obusobozi bw’okulembera, obusobozi okuduumira abalala, emyaka gyebamaze n’ejjinja lyebalina kati, empisa, amazima, ebbanga lyabamaze mu Poliisi, obuyigirize, emisomo emirala gyebabaddemu wamu n’obusobozi bwabwe.
Enanga agamba nti abasirikale 11823 bebasembebwa abaduumizi ba Poliisi mu bitundu eby’enjawulo wabula oluvannyuma lwakakunguuta abasirikale 3097 bebakayiseemu okukuzibwa.

Leave a Reply