Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 225 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abasirikale abafulumya ebyaama bya Poliisi bakwatibwe – DIGP Lokech

April 14, 2021 · Mubiru Ali
ABASIRIKALE BONNA ABAFULUMYA EBYAAMA BYA POLIISI BAKWATIBWE: https://youtu.be/IjZGoWT39vA
Omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force DIGP Maj. Gen. Paul Lokech avuddeyo nalagira batandike okunoonyereza ku basirikale ba Poliisi abasomola ebyaama oba ebiragiro ebiba ebyomunda nebabiwa abantu babulijjo.
Lokech, agamba nti kimukubye wala engeri ebintu ebyekyaama gyebivulumizibwa nebituuka ku ‘social media’ ekikontana n’amateeka agabafuga.
Lokech agamba nti ekikolwa kino kirina okukoma bunnambiro nalagira abaduumizi ba Poliisi okukuuma Radio Rooms n’ebitabo byabwe obutiribiri. Alagidde Director w’ekitongole kya Poliisi ekya Crime Intelligence Brig. Chris Damulira, okutandika okunoonyereza ku basirikale abakikola bavunaanibwe. https://youtu.be/IjZGoWT39vA