Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Abasirikale 4 basingisiddwa omusango gw’okutta omuntu e Kasese

Kkooti y’Amaggye eya Mountain Division yamaliriza okunoonyereza ku musango gw’okuttibwa kwa Benon Nsimenta 35 eyali aweese Mukazi we ku piki piki nakubwa amasasi ku kyalo Hima ku lwokusatu nga 26-June-2020 era newa ekibonerezo kya myaka 12 eri abasirikale ba UPDF 4.
Namwandu wa Nsimenta, Allen Musimenta agamba nti bali ku Piki piki ne bbaawe ku makya ku ssaawa nga emu eyokumakya nga bagenda mu nnimiro yaabwe ku kyalo Kanamba mu Gombolola y’e Karusandara nebasanga abasirikale e Karungibati ku luguudo lwa Hima-Kasese omu ku bbo nakuba bbaawe essasi.
Ekkooti eyakubiriziddwa Col. Felix Nyero e Karusandara mu Disitulikiti y’e Kasese yasingisizza abasirikale 4 omusango gw’okutta Nsimenta nga ku bano kwabaddeko; Pte Abraham Lokwap, Pte Jackson Nyero, Pte Joel Otim ne Lt. Talent Akampurira, bano bali mu 6th Mountain Brigade Battalion (Hima, Kasese)

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort