Abasiraamu tweyise bulungi tuggyewo ebituyisa abatujju – Sheikh Mubajje

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abasiraamu mu Yuganda beegasse ku balala mu nsi yonna okukuza olunaku lwa Eid Adhuha olussibwamu ennyo ekitiibwa nga lujjuukirirwako Jajja w’obukkiriza Ibrahim eyali agenda okuwaayo mutabani we nga ssaddaaka nga Katonda bweyali alagidde. 

Ku kitebe ekikulu eky’obusiraamu e Kampala mukadde,  okusaala kukulembeddwamu Mufti Shiekh Shaban Ramadan Mubajje n’akubiriza Abasiraamu okuba abakkakamu ate n’ensonga ezikwataganana  n’emisango egiri mu kkooti nazo zissibwemu ekitiibwa .

Share.

Leave A Reply