Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Abasiraamu abateebwa bazeemu nebakwatibwa

Ab’ebyokwerinda bazeemu nebakwata abantu 3 abateeberezebwa okuba nga bebatta eyali omwogezi wa Poliisi Assistant Inspector General of Police, Andrew Felix Kaweesi.
Abazeemu okukwatibwa kuliko; Abdul Majid Ali Mugoya Byantuyo, nga mutembeeyi wa bizigo n’eddagala ly’ekinnansi, nga mutuuze w’e Nakalama mu Disitulikiti y’e Iganga, Dhikusooka Faisal Hibwagi Sinani alias Farouk, mulimi nga mutuuze mu Disitulikiti y’e Butaleja ne Abdul Kaala Tigasitwa alias Ibrahim Chris Kato Ibra, omusiisi wa chapatti e Bwaise, mu Kampala.
Munnamateeka wabano Anthony Wameli yeyategeezezza omulamuzi w’eddaala erisooka owa Kkooti ya Nakawa Posiano Odwori, olunaku lw’eggulo.
Wameli yetegeezezza Kkooti yafuna essimu eyamukubira okuva mu bantu bakiikirira enaku bbiri eziyise nga bamutegeeza bwebaali bazeemu okukwatibwa ab’ebyokwerinda nga babakuumira ku kitebe kya Special Investigations Unit e Kireka, mu Kampala.
Okusinziira ku Wameli, agamba nti Munnamateeka munne Geoffrey Turyamusiima yagezaako okubakyalira wabula ne bamulemesa.
Wabula ye Omwogezi w’ekitongole kya Poliisi ekikola kukunoonyereza ekya Criminal Investigations Department Charles Mansio Twine yegaanye okubaako kyamanyi kukukwatibwa kwabano era nategeeza nga bwebatalina ‘File’ zaabwe era nga tebabalina mu kaduukulu ka Poliisi konna.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort