Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 642 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Abasimi ba zzaabu beegugunga lwakugobwa mu birombe – Mubende

June 23, 2017 · Mubiru Ali

Abasimi ba zzaabu e Mubende abasoba mu mitwalo etaano (50.000) bayingidde olunaku olwokubiri nga beegugunga okuwakanya eky’okubagoba mu birombe.

Bano okutuuka okwegugunga kiddiridde okufuna amawulire nti Gavumenti eteekateeka okubagoba mu kirommbe omusimwa zzaabu  e Kitumbi Mubende.

Ebirombe mwebagobwa kuliko eky’e Lujjinji A, Lujjinji B Lujjinji C okwo  kwogatta ne Kamapala ebisangibwa mu ggombolola y’e Kitumbi e Mubende.

Ye omubaka mu Palamenti owa Bukuya Dr. Micheal Bukenya ategeezezza nti kirabika waliwo ababuzaabuza Pulezidenti Museveni okugoba abantu kuba bano tebalina waakudda.