Abasima zzaabu e Mubende UPDF ebatutte ntyagi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Eggye lya UPDF olwaleero  litutte entyagi abantu abasoba mu mitwalo mukaaga (60.000) ababadde basima zzaabu e Mubende . 

Abantu bano abagobeddwa babadde bakolera mu birombe omuli Lujiiji A, Lujiiji B, Lujiiji C, Kampala, Kapya ebisangibwa mu ggombolola y’e Kitumbi mu Disitulikit y’e Mubende.

Enteekateeka eno ey’okugoba abantu mu birombe omusimwa zzaabu e Mubende ekulembeddwamu Col. Joseph Balikuddembe era nga kino kiddiridde ebbaluwa ya Pulezidenti Museveni gyeyawandiika nga ennaku z’omwezi 28 Ssebaaseka omwaka guno ng’ agiwandiikira ababaka mu Palamenti abava e Mubende ng’abategeeza ng’abantu bano bwebalina okwamuka ekifo kino bunnambiro.

Share.

Leave A Reply