Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Abasibe babiri bafiiridde mu kabenje

October 2, 2018 · Mubiru Ali

Abantu babiri nga bano babadde basibe bafiiridde mu kabenje ate abalala 18 nebalumizibwa byansusso emotoka y’amakomera nnamba UAL 349F Isuzu kwebabadde batambulira bweyaremeredde omugabo waayo bweyabadde agezaako okutaasa owa Boda Boda. Bino byagudde Namayumba ku luguudo lwa Hoima Road mu Wakiso.
Okusinziira ku mwogezi w’ekitongole ky’amakomera Frank Baine yategeezezza nti abasibe bano bakomera ly’e Kitalya. Abafudde kwekwabadde ne Zubairi Yasin nga ono yasalirwa omusango mu 2013 nga ekibonerezo kye kibadde kiggwako mu 2025.
Baine yagambye nti ekitongole ky’amakomera kyawerezza dda abasajja baakyo ku ddwaliro ly’e Namayumba okwongera okuyamba ku basawo.