Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 627 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abasibe 14 batolose mu kaduukulu – Nakaseke

December 29, 2016 · Mubiru Ali

Abasibe 14 batolose okuva mu kkomera ly’e Wakyato erisangibwa mu ggombolola y’e Wakyato ekiri mu Disitulikiti y’e Nakaseke oluvannyuma lw’okusima ekinnya mu kaduukulu.

Wabula musanvu ku 14 bazzeemu nebagombebwamu obwala, bino bikakasiddwa omwogezi wa Police mu kitundu kino, Vincent Ssekate era n’asaba abatuuze okwetooloola ekitundu ekyo okubayamba okutemya ku Police nga balabye ku balala bano.

Ssekato ayongerako nti abasibe bano abaatolose babadde bavunaanibwa emisango gya naggomola omuli; obutemu, okukwata abakazi n’abaana n’emirala .