Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 390 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abaserikale ba Minisita Kibuule bamenye essomero – Buyikwe

March 2, 2018 · Mubiru Ali

Abatuuze bo ku kyalo Kigaya – Ggolomolo ekisangibwa  mu ggombolola y’e Najja mu Disitulikitiy'e Buyikwe bakyabuliddwa gye basomeseza abaana   oluvannyuma lwabaserikale ba Minisita Ronald Kibuule okumenya akasomero omubadde musomera abaana baabwe n’ebintu by’essomero bingi ne babyonoona.

Bagamba nti kati abaana baabwe tebakyasoma olwengendo ze batindigga ate nga n’omulimu gw’okuvuba ogubadde  gubakwatiridde abaserikale bo ku mazzi baagwonoona nga kati baagala buyambi.

Mu ngeri y’emu bakukkulumidde abakulembeze omuli Minisita Ronald Kibuule, omubaka w'amaserengeta ga Buikwe  David Mutebi, aduumira Poliisi mu kitundu kya Ssezibwa Bob Kagalura okuba emabega w'embera ebataataaganya olw'obutavaayo kubayamba.  

Wabula atwala ebyenjigiriza mu Disitulikiti y'e Buyikwe Bill Tomusange  agumizza abatuuze nti bagenda kulaba ekikolebwa okubayamba amangu ddala nga nwekisoboka.