Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 247 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abasawo b’ebisolo balabudde ku balunzi abawa ebisolo ARVs

March 20, 2018 · Mubiru Ali

Abasawo b'ebisolo e Mubende balaze okutya olw'abalunzi abeefunyiridde okuwa ebisolo empeke eziweweeza ku kawuka ka mukenenya (ARVs) kyebagambye nti kya bulabe eri obulamu bw'abantu. 

Bano nga bakulembeddwamu Dr. Kawule Leonard Kiryonsa okuva mu Vetline Services ategeezezza nti okunoonyereza kwe bakoze kulaze nga omuze gw'okuwa ensolo eddagala lino erya ARVs bwe gukyase ennyo e Mubende era nga ky'ekiseera abakola kino okukangavvulwa. 

Empeke zino, abalunzi naddala ab'embizzi n'ente, bazikozesa nnyo mbu okuyamba ebisolo bino okugejja ennyo.

Kiryonsa agasseeko nti ekisolo buli lwekiweebwa eddagala lino erya ARVs omuntu bw'alya ennyama yaakyo afuna okutaataaganyizibwa mu mubiri nga singa afuna obulwadde bwa mukenenya n'atandika okulikozesa libeera terimuyamba kubanga omubiri gubeera gwaguba dda.

Kiryonsa wano w'ansinzidde n'alabula abalunzi e Mubende okwewala omuze guno nti guviirako n'abantu bangi okukosebwa songa n'abakozesa eddagala lino erya ARVs kibaviirako okulinoonya nga tebaliraba ekiteeka obulamu bwabwe mu matigga .