Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 433 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Abasawo balagajjalidde omukazi eyaakazaala naafa – Mityana

February 7, 2017 · Mubiru Ali

Abasawo ku ddwaliro ekkulu e Mityana basongeddwamu olunwe ku kufa kw’omukyala eyafudde nga yaakamala okuzaala.

Omusasi waffe Balikuddembe e Mityana atutegeezezza nti abantu naddala abakyala bakedde kuzinda ddwaliro lino nga beekalakaasa, nga bavumirira eky’abasawo ku ddwaliro okuba abalagajjavu eri abalwadde.

Nansubuga Angel nga abadde mutuuze ku kyalo Baamunaanika mu Disitulikiti y’ e Mityana yamalirizza okuzaala n’avaamu omusaayi mungi wabula abasawo nebasaba 5000 okugula eddagala eriziyiza omusaayi nga tazirina era waayise eddakiika mbale n’aserengeta ekalannamo . Kitalo.