Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 382 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abasawo ab’ediima balabe ba ggwanga – Museveni

May 1, 2018 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kyaddaaki avuddemu omwasi ku nsonga y’abasawo abeediima okuva omwaka oguwedde nga baagala bongezebwe ku musaala n’agamba nti balabe ba ggwanga abawedde emirimu.

Museveni w’ayogeredde bino amawulire buli olukya geegera ku Gavumenti engeri gy’egenda okupangisa abasawo okuva mu ggwanga lya CUBA bayembeko aba wano nga kyetaagisa lukumi mu bitaano eza ddoola z’amerika ku buli musawo ekintu ekibiina ekitaba abasawo ki Uganda Medical Association kyekiwakayiza ddala.

Nabwekityo olwaleero Pulezidenti Museveni ng’asinziira ku mikolo gy’olunaku lw’abakozi e Ssembabule akalambidde nti tayinza kukkiriza bantu beeyita basawo naye nga bateeka ebikola wansi nga beerimbika mu kubongeza musaala ate abantu nebafa.