Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 221 listening Simba FM Live

Abasawo abakugu ku Kookolo okuva mu America baakuggya okwekebeggya Carol

April 28, 2016 · Mubiru Ali

Tiimu y’abasawo abakugu mu kujjanjaba ekirwadde kya Kookolo okuva mu America baakutonnya mu ggwanga enkya ku lwokutaano okwekebejja omuwala Carol Atuhairwe amaze n’ekirwadde kya kookolo wemimiro okumala emyaka etaano . 

Abasawo bano bagenda kukola okwekebejja okwekikugu eri Carol era bawabule ku kiseera ekituufu ekyokumulongoosezaako .

Okusinziira  ku mukulu wa Carol Jackie Atugarurirwe agamba nti abasawo bano bagenda kukolaganira wamu n’abasawo baawano abajjanjaba kookolo mu ddwaliro lye Mulago era baakukola ne kubalwadde ba kookolo abalala abali mu ggwanga oluvannyuma lwa Carol .

Ayongerako ( Jackie Atugarurirwe)  nti wategekeddwawo okusaba okwenjawulo ku lwokusatu olujja  okuwaayo Carol eri Mukama Katonda ayongere okumukolera ebyamagero nga era mu kusaba kuno Carol asuubirwa okulangirira enteekateekaze eri eddwaliro lya Kookolo  .