BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Abasajja bankuba ebitagambika – Zaake

Cont’d
Hon. Zaake Francis Butebi: Bwetwatuuka mu Arua, buli omu yagenda mu kisenge kya wooteri mweyali agenda okusula ku wooteri gyeyali alonzeeko. Twagenda ku ‘Rally’ eyakomekerezebwa ku ssaawa nga kumineemu n’eddakiika ana, era bwetwamaliriza twawerekerwako abawagizi baffe mu mirembe era twatuuka netwawukana netubasiibula.
Nagenda butereevu mu kisenge kyange ekya wooteri, wabula mba ndi eyo ngenda okuwulira eddoboozi eryajja lisembera nga lirekaana nti Yasin akubiddwa amasasi. Nali sikikiriza era nafuluma ekisenge kyange njorekere mu parking ya wooteri wabweru wabula mba natera okutuuka ku motoka ya Tundra Yasin mweyali abasirikale abayitirivu nebajja nga bangoba era bwentyo nange nadduka nzira mu wooteri wabula era basigala bangoberera era nali nzigulawo okuyingira omu kyeyava yenyigiriza nayingira mu kisenge kyange era omu nansaba nengwa wansi.
Wano batandika okunkuba nga bwebambuuza ebisenge bya wooteri mwebali wabula buli lwenabagamba nga nti simanyi gyebali nga bongera kunkuba era wano webatandikira okunyiga ebitundu byange ebyekyaama saako n’okubisika nga nfa obulumi. Bantegeeza nti bwesirekere awo okulwanyisa President Museveni baali bakunzitta.
Bwenawulira ekyo nabagamba nti bweba y’ensonga eky’okunkuba tekimala wabula banzite kuba saali wakulekerawo nakulwanyisa bikolwa bibi nga bino era nti twali twewaddeyo okumusindikiriza okutuusa bwaliva mu ntebe kuba Uganda ya ffenna.
Kino kyabanyiiza nnyo era nebansiba emikono olwo nebatandika okunfumita ebiso ebiri ku mmundu mu matu, olubuto mugongo wamu n’emikono. Bankuba ebigala by’emmundu ku bukongovule, ebigere, engalo nebansuna akalevu nga bakozesa magalo. Nga bwewalaba ekyatuuka ku Kawooya nga buli omu alaba ekyo kyali kitone, tebeereza ekyaliwo etaali camera wadde awolereza.
Bingi ebyensonyi ebyantuusibwako ebitayogerekeka naye eyo y’ensi mwetuli.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply