Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 274 listening Simba FM Live

Abasajja bana abasuubirwa okuba abayizzi bakwatiddwa e Lwengo n’ennyama y’engabi

June 7, 2018 · Mubiru Ali

Sseremba Ben, Nanduli Ronald, Mugerwa Joseph, Nyanzi Abdu ne Musinguzi Ronald nga yabadde avuga emotoka mwebabadde ye adduse, bakwatiddwa n’ennyama y’engabi nga ekika ky’engabi kino kyekisingayo obunene era nga kisangibwa mu kkuumiro ly’ebisolo erya ‘Lake Mburo National Park.

Bano babadde bagitambuliza mu motoka ekika kya Premio nnamba UAM 423X nga babadde ne Kilograms 350.

Bano bwebakunyiziddwa bagambye nti ennyama eno bagikozesa okukola sumbusa z’ennyama wamu n’okutundibwa muzi ‘butcher’ ez’enjawulo.

Bashir Hangi omwogezi w’ekitongole ekikuuma ebisolo mu ggwanga ekya Uganda Wildlife Authority agambye nti bagezaako nnyo okukuuma ebisolo bino n’asaba abantu babulijjo okufuba ennyo okubategeezaako bwebalaba abantu nga bano.