Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 336 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abapoliisi 5 bakwatiddwa lwa kufa kwa mugoba wa Takisi – Jinja

March 10, 2017 · Mubiru Ali

Ba Ofiisa ba Police bataano nga bavunaanyizibwa ku bidduka e Jinja bagombeddwamu obwala oluvannyuma lw’omugoba wa Takisi asangiddwa nga z’embuyaga ezikaza engoye era nga omulambo gwe gwasangiddwa nga gutengejjera ku mugga Kiyira ku kyalo Buwende ekisangibwa mu ggombolola y’e Mafubira ekiri mu Disitulikiti y’e Jinja.

Ayogererera Police mu bitundu bya Kiira, Samson Lubega atutegeezezza nti omugenzi ye Jinny Nyanzi atemera mu gy’obukulu 30 era nga abadde  mutuuze ku kyalo Naminya ekisangibwa mu ggombolola y’e Wakisi mu Disitulikiti y’e Buyikwe.

Ye Ssentebe w’abagoba ba Takisi mu kitundu kino, Khalid Muyingo agamba nti ku lwokubiri lwa ssabbiiti eno abaserikale b’ebidduka baayimiriza Muyingo ku lutindo lw’e Nalubaale okumukebera kubanga yali atisse kabindo, wabula omugoba ono yasaako kakokola tondeka nnuyuma era okukakkana nga Ofiisa wa Police omu omusimbyeko wabula oluvannyuma ofiisa waPolice ono yakomawo ng’ategeeza nga omusajja bwamubuzeeko naye nga ofiisa wa Police ono ateeberezebwa okuba nga yasooka kumuweweenyula migoba nte n’oluvannyuma naamukanyuga mu mazzi.

Okusinziira ku alipoota eva mu ddwaliro ekkulu e Jinja egamba nti ono yafudde oluvannyuma lw’okubbira okwo gattako n’ebiwundu ebyasangiddwa ku mutwe.