Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 861 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abantu tebesigwa era mbayize – Amama Mbabazi

September 30, 2020 · Mubiru Ali
Eyaliko Ssaabaminisita wa Yuganda Amama Mbabazi John Patrick yavuddeyo nalaga enyiike eri abantu abawerako beyali ayita mikwano gye abamulekerera. Bino yabyogeredde mu kuziika kizibwe we James Katono ku kyalo Katinda, mu Gombolola y’e Rweikiniro mu Disitulikiti y’e Ntungamo. Mbabazi yagambye nti afunye ekyokuyiga okuva ku mikwano gye wano mu Yuganda n’ebweru waayo nga bano baaliwo mu kadde akalungi kokka.
Mbabazi yagambye nti mu bulamu waliwo abantu betuyita emikwano naye nga balina amannya nga Katesigwa, balaga nti mikwano gyo ku ngulu naye waliwo akaseera akatuuka nga bonna tolina gwewesiga.
Yagambye nti yalina emikwano mingi wabula nga kati yabawulamu emiteeko, alina abo abeerawo mu kadde ngobudde bulungi nga wabula singa embeera ekyuuka ogenda okumagamaga nga tobalabako.