Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 365 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abantu mugira mulindako okugenda e Rwanda – Gavumenti

February 1, 2022 · Mubiru Ali
Minisita David Bahati avuddeyo nategeeza nga Gavumenti ya Uganda bwesabye Bannayuganda okugira nga balindako okugenda mu ggwanga lya Rwanda nga bakozesa ensalo y’e Gatuna kuba mu kugiggulawo babadde bengenderedde kusooka kukiriza mmotoka ezitambuza eby’amaguzi (loole) okusooka okuyingira.
Bwabadde ayanukula Nampala w’oludda oluwabula Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. John Baptist Nambeshe, Hon. Bahati ategeezezza Palementi nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yabategeezezza nti ensala ekyaguddwawo eri loole ezitambuza eby’amaguzi ngabantu bajja kuba baluvannyuma.