Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 314 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Abantu mu Yuganda basobola okugaggawala bonna – Minisita Kasolo

January 17, 2017 · Mubiru Ali

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’ensimbi n’okuteekerateekera ebibiina by’obwegassi, Haruna Kyeyune Kasolo agamba nti abantu mu ggwanga basobola okugaggawala bonna singa buli muntu afuna obukugu n’obumanyirivu mu kutereka ensimbi n’okuzizaazisa.

Ono agamba nti abantu bangi bafuna ensimbi kyokka nebakomekkereza nga bazitadde ku mumwa nekbakomekkereza nga baavu baavu emponga byoya.

Minisita bino abyogeredde mu Ggombolola y’e Ssekanyonyi mu Disitulikiti y’e Mityana ng’eno gy’asisinkanidde ebibiina by’obwegassi.ebisobye mu 50.