Breaking
News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire. News: Eggwanga lya Senegal kyaddaaki likakasiddwa nga linantameggwa lya Africa Cup of Nations AFCON 2025 oluvannyuma lwokuwangula okujjulira
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 48 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Abantu bana battiddwa mu bubbi, abatuuze bali ku bwerende .

March 2, 2016 · Mubiru Ali

Abantu bana bakakasiddwa nti be battiddwa mu bikolwa eby’obubbi mu disitulikiti ye Nakaseke ne Luwero ,ekirese abatuuze nga batidde .

Abattiddwa be Margaret Nakafeero,omutuuze ku kyalo Bulyankuyege mu gombolola ye Katikamu mu disitulikiti ye Luwero, Mustapha Ssekweyama , Jamadah Ssentoogo n’omualala ategeerekeseeko erya Muhamood ย nga bano bonna ba ku kyalo Nabisojjo mu Gombolola ye Wakyato mu Disitulikiti ye Nakaseke .

Ayogerera Police mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agamba nti Nakafeero yakubiddwa amasasi ababbi basatu abaabadde babagalidde emigemera wala mu kiro ekikeesezza leero mu bulumbaganyi obwabadde mu makage nga baagala obukadde 30 bbaawe bweyatunze mu ttaka .

Ate abalala abasatu baabadde babbi abattiddwa abatuuze bwebalumbye ekyalo Kanyale mu Gombolola ye Wakyato, bwebatyo abatuuze nebabataayiza nebabakuba okukkakkana nga babamizizza omusu .