Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 259 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abantu bafunye obujjanjabi obwobwerere mu lusiisira lw’ebyobulamu e katwe

March 23, 2019 · Mubiru Ali

Abantu ab’enjawulo bafunye obujjanjabi obwobwerere mu lusiisira lw’eby’obulamu olutegekeddwa mu Gombolola ya Mutuba VI Katwe nga emu ku nteekateeka z’okukuza olunaku lw’abakyala mu Buganda.
Bwabadde alambula olusiisira luno, Oweek Mariam Mayanja Nkalubo asabye abantu okwekebezanga kibasobozese okumanya bwebayimiridde mu mbeera z’obulamu bwabwe.
Mu bujjanjabi obugabiddwa mwemuli okugema Hepatitis B, okukebera obulwadde bwa Nalubiri, akawuka ka Mukenenya n’endwadde endala nnyingi. Olunaku lw’abakyala lwakukuzibwa enkya e Buddu nga Nnabagereka ye mugenyi omukulu.