Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing · 279 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Abantu abamu be beelemezza mu bwavu – Pulezidenti Museveni

November 1, 2016 · Mubiru Ali

Omukulembeze w’eggwanga lyattu Yuganda, Yoweri Kaguta Museveni agamba nti waliwo abantu abeelemezza mu bwavu bokka nga kino kivudde kubamu okwekwasa obusonga obutaliimu gamba nga obutaba na masannyalaze .

Omukulembeze w’eggwanga asinzidde ku kisaawe eky’essomero lya Ssekanyonyi Roman Catholic mu ggombolola ye Ssekanyonyi e Mityana , n’agamba nti waliwo ebintu ebimu gamba nga okulunda nga tebyetaagisa masannyalaze abantu byebayinza okwenyigiramu nti kyokka bangi  babibuusa amaaso nebadda mukwekwasa  Gavumenti tetuwadde masannyalaze.

Pulezidenti mungeri yeemu agamba nti abamu balemererwa okwawula enkulaakulana n’onbugagga ksonga ate obugagga bubeera bwa ssekinnoomu .

Wabula ye Ssentebe wa Disitulikiti y’e Mityana, Joseph ategeezezza omukulembeze w’eggwanga nga bwebasanze ekizibu ky’ekibba ttaka nga abamu babulwako newebalima ebirime ebigabibwa wansi w’enkola eya Operation Wealth Creation.