Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 189 listening Simba FM Live

Abantu abalala 21 bazuuliddwa n’obulwadde bwa COVID-19

May 15, 2020 · Mubiru Ali

Minisitule y’Ebyobulamu yavuddeyo olunaku lw’eggulo netegeeza nta Abantu abalala 21 bwebazuuliddwa n’obulwadde bwa #COVID-19 okuva mu ‘samples’ 1593 eza ba Ddereeva b’emotoka ennene. Kati abakakwatibwa obulwadde bwa #COVID19UG mu Yuganda bali 160.
Bano kuliko Bannayuganda, Bannakenya, Bannansi ba Tanzania ne South Sudan nga bayingira Yuganda nga bayita e Mutukula, Busia ne Elegu.
Abantu okuva mu mbeerabantu 303 abakebereddwa bonna babadde balamu.
Abakawona mu Yuganda bonna awamu bali 63.