Abantu 9 bwakwatiddwa mu by’okutunda Zzaabu ow’ebiccupuli

Poliisi y’e Entebe eri mukunoonyereza ku bantu 9 abenyigira mu kutunda Zzaabu ow’ebiccupuli nga abalirirwamu USD 160,000 bwebukadde 576 obwa Uganda era nga bano bakuumirwa ku Poliisi ku kisaawe Entebe nga bwebakola okunoonenyereza.

Bano kuliko; Dorcus Chibasi, Samson Onyango Wesonga nga ono Munnakenya, Godfrey Kadimba akola ogw’obukuumi mu kkampuni ya Rangers Security Limited, Manda Mpoyi Rajiv nga ono munnansi wa Congo, Immaculate Nsimire nga ono receptionist ku kkampuni ya Gold Soko Africa Limited, Bachigeya Milenge ne Hagen Sadiki Mustafa Ahongeze nga bakozi mu kkampuni ya Gold Soko Africa Limited.

Mu byebabakutte nabyo mulimu rolls 15 n’ekitundu eza brass rods, ekyuuma ekiyamba mu kulongoosa zzaabu ekye kiccupuli nga kyasangiddwa ku kkampuni ya Gold Soko Africa Limited esangibwa e Kiwafu estates Kasanga, emotoka nnamba UAS 356S, CCTV cameras, wamu ne license abakiriza okukola ne Stamp ez’enjawulo.

Omumyuka w’omwogezi wa Poliisi Patrick Onyango agamba nti bafuna okwemulugunya okuva eri munnansi wa Sudan Adham Eltejani 45, nti yabibbwako Zzaabu abalirirwamu USD160000 (10kgs) era Poliisi netandikirawo omuyiggo okuva nga June 6 nebasobola okukwata bano omwenda.

Poliisi esabye abantu okubeera obulindala naddala ku bafere abatunda Zzaabu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ensala ya Kkooti ensukulumu yabadde yamazima – Rukutana