Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 211 listening Simba FM Live

Abantu 65 bebafiira mu bubenje wiiki ewedde – ASP Nampiima

January 31, 2022 · Mubiru Ali
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force eky’ebidduka ASP Faridah Nampiima avuddeyo nategeeza nti obubenje 383 bwebwaggwawo mu wiiki emu eyise eyatandika nga 24/Jan/2022 okutuuka nga 30/Jan/2022.
Nga ku buno obubenje 57 bwali ddekabusa, ate obubenje 213 bwali bwamaanyi olw’obubenje 113 bwali tebutiisa nnyo.
Okusinziira ku Nampiima agamba nti buno bwazingiramu abantu 348 nga ku bano 65 baafa ate 283 bavaawo n’ebisago.