Abantu 6 abagambibwa okuwamba omukazi mu Ppaaka empya basimbiddwa mu kkooti ya LDC nebasomerwa emisango

Mugambe Kamada Shakur omutembeyi mu Kisenyi, Olo John Bosco, Ali Ddumba Salongo Omusawo w’ekinnansi e Masajja, Frank Ssendi omuvuzi wa Boda-boda e Kawempe, Brain Kaaya ne Lukwago Herbert broker w’ettaka ow’e Makindye baleeteddwa mubukuumi obw’amaanyi obwa CMI and Joint Anti-Terrorism.

Oludda oluwaabi lugamba nti bano omukaaga nga 11 May mu Ppaaka ya Taxi empya ku luguudo lwa Namirembe bawamba Rose Nakiseka n’ekigendererwa eky’okufuna ensimbiΒ 1,150,000/= okuva ku Taata we Fred Kassaga.

Bano bavunaaniddwa omusango gw’obutemu nga kigambibwa nti batta Nakisekka n’omukyala omulala Rehema Nabwanika gwebagambibwa okutta nga 24 May e Masajja e Makindye Sabagabo.

Omulamuzi ow’eddaala erisooka Joselin Nsenge bano tabakirizza kwogera kintu kyonna olw’okuba emisango egibavunaanibwa gya naggomola era giwulirwa Kkooti enkulu yokka era bwatyo n’abasindika e Luzira.

Kyokka era mu Kkooti y’emu waliwo omusajja Kizito Sadi azze nga alumiriza abantu bebamu okuwamba omwana we eyali asoma ku YMCA e Wandegeya Drina Nalule.

 

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Mukyala w’omukuumi wa Kitatta azirikidde ku kkooti