Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 1,520 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Abantu 5 baziikiddwa amayinja mu kirombe nabafiirawo

September 4, 2022 · Mubiru Ali
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga emirambo 5 bwegigiddwa wansi wamayinja agabisse abantu mu kirombe ekisangibwa e Nganjo LC1, Namulanda Ward, Kajjansi Town Council mu Disitulikiti y’e Wakiso ku ssaawa kumi nabbiri n’ekitundu ezolweggulo olunaku lw’eggulo.
Emirambo gino kuliko ogwa Nsumba Abdu 35, Ddureeva wa Isuzu Forward nnamba UBL 456T Isuzu eyabadde agenze okutikka amayinja, Kaggwa Ronald 30, Kasule Vicent, Irumba Junior 24, ne Lubogo Posiano 39.