Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 1,448 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Abantu 5 abagambibwa okubbira ku masimu basindikiddwa e Kitalya

August 19, 2022 · Mubiru Ali
Ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunooyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID kivuddeyo nekitegeeza nga bwekyakutte ekibinja ky’abantu 5 bano nga bano bebamu ku kibinja ky’abantu ababbira Bannayuganda ku masimu ng’omulunaku olwaleero basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road nebavunaanibwa emisango egyenjawulo. Bano basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 23-August-2022.
Bano kuliko; Mugarura Mike ngono yabakulira, Eletu Moses, Arim Rifad, Mwebembezi Patrick ne Rwothomia Demick, nga babadde bakozesa ennamba z’essimu okuli Uganda Telecom nnamba 0414673797 ne MTN Uganda nnamba 0776-318856. Mugarura Mike avunaaniddwa emisango 4 egoykweyita kyatali, 2 egyokufuna ssente mulukujjukujju okuva ku bantu bbo banne 4 bavunaaniddwa omusango ogwokwekobaana okuzza omusango.