Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 940 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abantu 4 bakwatiddwa lwakuwanika miwendo gyabintu ebigambibwa

April 9, 2020 · Mubiru Ali

Abakungu 4 okuva mu offiisi ya Ssaabaminisita bakwatiddwa ne baggalirwa ku bigambibwa nti baduumudde emiwendo gy’ebintu ebibadde bigulibwa Gavumenti okuduukirira abantu mu kaseera kano aka #COVID-19.
Abakwatiddwa kuliko; Christine Guwatudde (the Permanent Secretary OPM), Martin Owor (the Commissioner Disaster preparedness also the head of Covid 19 relief management), Joel Wanjala (the assistant commissioner procurement) ne Fred Lutimba (the commissioner disaster management).
Bano bakwatiddwa oluvannyuma lw’ekiragiro okuva ewa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku lwokusatu nga ayagala akakiiko ka Anti Corruption Unit – State House Uganda katunule mu miwendo naddala egy’emmere.
Pulezidenti agamba nti ayagale amanye lwaki babadde bagula ebintu ku babiseera ate nga wabaddewo abalala abaagala okubiguza Gavumenti ku bbeeyi eyawansi. Kigambibwa nti bano bagaanye okuwa abasuubuzi abalala ‘tender’ ababadde balina ebintu ku bbeeyi eyawansi.