Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 372 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abantu 4 bafiiridde mu kabenje

June 23, 2019 · Mubiru Ali

Akabenje kagudde ku luguudo lwa Yusuf Lule ku ssaawa mukaaga ez’omuttuntu emotoka nnamba UBA 111E bweremeredde omugoba waayo neyefuula neggwa mu Golf Course nettirawo bonna abagibaddemu oluvannyuma lw’okutomera omuti nga babadde bakozi ku kkampuni y’amazzi eya Hema Beverages e Bwaise.

Abafudde kuliko; Kalakada Dileep 22, Munnansi wa India nga yabadde avuga, Xu Xiang Sheng 29, Wei Ya Wei 28, ne Su Wei 35 nga bano Bannansi ba China.

Emirambo gyabwe gitwaliddwa mu ggwanika e Mulago nga bwebalindirira okugikwasa ebitebe by’ensi zaabwe.