Abantu 3 balumiziddwa ku Bbiri amadaala bwegagudde ku kalina

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nti etandise okunoonyereza kukiyinza okuba obulagajavu ekiyinza okuba nga kyekiviiriddeko amadaala agebyuuma ku kizimbe kya Synagogue Church of All Nations ekizimbibwa ku bbiri okugwa negalumya abantu 3.
Okusinziira ku mumyuka w’omwogezi wa Poliisi owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire agamba nti akabenje kano kaguddewo ku ssaawa nnya ezokumakya.
Abalumiziddwa kuliko Eddy Namasanga 40, Dembe Robert 35, ne Batumbi Alex 26 nga bali mu ddwaliro e Mulago bajanjabibwa.
Share.

Leave A Reply