Breaking
News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire. News: Eggwanga lya Senegal kyaddaaki likakasiddwa nga linantameggwa lya Africa Cup of Nations AFCON 2025 oluvannyuma lwokuwangula okujjulira
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 150 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Abantu 3 bakwatiddwa ku bigambibwa nti benyigidde mukusaddaaka abaana 2 e Kiboga

April 6, 2024 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force mu ttundutundu lya Wamala Kawala Rachael avuddeyo nategeeza nga abasirikale okuva mu Crime Intelligence bwebakutte abantu 2 kubigambibwa nti benyigira mu ttemu ery’emirundi 2 mu Muluka gwe Kasega, mu Gombolola y’e Kapeke mu Disitulikiti y’e Kiboga nga 4-April 2024.
Abakwatiddwa kuliko Sulaiman Ssentongo 32, omutuuze ku Kyalo Kirinda ne Namuleme Maureen 41, omutuuze ku kyalo Kisingiri, Namirembe Bakuli Ward, Rubaga Division, mu Kampala.
Abasirikale balondodde Ssentongo omusawo w’ekinnansi nga bakozesa essimu nebamukwatira e Kireka mu Kampala ekiro nga 5-April wamu ne mu Namuleme Maureen nga kigambibwa nti yeyamuwadde ssente z’entambula asobole okudduka okuva mu kifo webattira abantu bano.
Bano bombi bakuumirwa ku CPS e Kiboga nga kati abakakwatibwa baweze 3. Kigambibwa nti nga 3-April ku ssaawa nnya ez’ekiro baana 2; Nantongo Sylvia, 5 ne Nakasumba Esther, 2 babula, ekyenaku ebiwuduwudu byabwe byasangibwa ku Kyalo Kirinda, Kasega Parish, Kapeke sub-county, era bambega ba Poliisi okunoonyereza kwabwe kwabasuula mu maka ga Sulaiman Ssentongo, omusawo w’ekinnansi.