Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 726 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abantu 3 abalina Ebola batolose mu ddwaliro

June 13, 2019 · Mubiru Ali
Abantu 3 abateeberezebwa okubeera n’obulwadde bwa Ebola bebagambibwa okuba nga batolose w’ebakuumira abantu abalina ekirwadde kya Ebola ku ddwaliro lya Kihihi Health Centre IV mu ttawuni y’e Kihihi mu Disitulikiti y’e Kanungu.
Saddi Muhima, 46, ne mutabani we Issa Muhima, 19 ne Milton Nsenga, bonna nga Bannansi ba Democratic Republic of Congo (DRC) bebabadde bateekeddwa mu kifo kino olw’obazuula n’obubonero obwefaananyiriza alina Ebola nga bakatuuka ku nsalo y’e Munyaga nga basala okuyingira mu Western Ward mu ttawuni y’e Butogota mu Disitulikiti y’e Kanungu ku lwokusatu kumakya.