Breaking
News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi. News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 224 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abantu 2673 bebasuuliddwa e Masaka mu kwewandiisa okuyingira UPDF

July 1, 2022 · Mubiru Ali
Okunoonya abagenda okwegatta ku ggye lya Uganda People’s Defense Force UPDF kugweredde mu mirango mu Masaka Sub-Region abantu abawerera ddala 2673 bwebasuuliddwa olwokubeera n’ebiwandiiko ebijingirire, okubeera mu mbeera yobulamu embi, obulemu n’ensonga endala.
Okuwandiika abanegatta ku maggye mu Kibuga Masaka kakomekerezeddwa wiiki eno nga ku bantu 3000 abazze okwewandiisa 327 bokka bebayiseemu.
Bangi balabiddwako nga bakulukusa amaziga. Okusinziira ku mwogezi wa Masaka Armoured Brigade – Kasijjagirwa Capt. Ninisiima Rwemijuma, agamba nti omuwendo gwabadde munene era nga bandyagadde bonna okubatwala naye abasinga balemereddwa okuyita ebigezo.
Okugezesebwa kuno kwakoleddwa mu Masaka Recreation Grounds nga abazze okwewandiisa bavudde mu Disitulikiti okuli; Masaka, Kalungu, Lwengo, Sembabule, Gomba, Butambala, Kalangala, Bukomansimbi, Rakai, Lyantonde ne Kyotera.