Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 286 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

ABANTU 20000 ABAYINIKE BEBAKASUBWA EZA NABBANJA

July 9, 2021 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku bakozi, Ekikula n’embeera zabantu Betty Amongi avuddeyo nategeeza nga abantu abayinike 20,000 bwebagenda okusubwa okufuna ssente emitwalo 10 okuva mu Gavumenti oluvannyuma lwekyuuma kikkalimagezi okubawandula ku lunaku Olusooka.
Kigambibwa nti abagaaniddwa ekyuuma amannya gaabwe gabadde tegakwatagana nenanga muntu eyakozesebwa okuwandiisa essimu, okuddibwamu amannya, ate abalala tebabadde na NIN number.

Amongi agamba nti Gavumenti ekozesa tekinologiya owawaggulu okuyamba bbanka ne kkampuni zamasimu okuwandula abo abatalina bikwatagana na NIN number zaabwe.
Amongi agamba nti bakuzzaayo amannya gano eri ba Town Clerk abajja okuzibawa mu mpeke nga batereezezza ebibakwatako.