Abantu 2 bakwatiddwa lwakubba nnamba za motoka

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Kajjansi bweyakutte abantu 2 nga bateeberezebwa okuba nga babadde babba ennamba z’emotoka mu bitundu by’e Lweza B, Kitende, Ssekiwunga ne Bwebajja ebisangibwa mu Kajjansi Town Council mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Bano kulikot Ssebigo Samuel 31 nga aweereza ku bizimbe omutuuze w’e Kawotto Cell, Kitende Ward ne Maseruka Misach 27 nga muteeze w’e Lweza B Cell Kawaali nga bano bakwatiddwa oluvannyuma lwekikwekweto ekyakoleddwa oluvannyuma lw’abatuuze okwemulugunya ku bubbi bw’ennamba z’emotoka obweyongedde.
Bano oluvannyuma lwokubuuzibwa ebibuuzo ebiwerako Poliisi yakizudde nti ekikoose kirimu abantu abawerako abadduse era nga batandise okunoonyezebwa.
Share.

Leave A Reply

instagram volgers kopen volgers kopen buy windows 10 pro buy windows 11 pro