Olunaku lw’eggulo Minisitule y’Ebyobulamu yavuddeyo nerangirira nga abantu abalala 15 bwebazuuliddwa n’obulwadde bwa #COVID-19 nga kati Bannayuganda abakakasibwa okubeera n’obulwadde bwa #COVID19UG bali 175.
10 Ba Ddereeva ba motoka nnene nga bayingirira ku nsalo y’e Elegu, 2 Busia be Malaba ate 3 bebasisinkana ba Ddereeva abakakasibwa okubeera n’obulwadde buno.
Bonna abasatu babadde mu ‘quarantine’. Ba Ddereeva 23 okuva mu nsi endala bakwasiddwa Gavumenti zaayo. Abakawona mu Yuganda kati bali 68.
Abantu 15 bebazuuliddwa ne COVID-19

