Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 320 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abanoonyi b’obubudamo beeraliikirizza Minisita

February 28, 2018 · Mubiru Ali

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku busandali n'ebigwabitalaze, Musa Ecweru agamba nti abanoonyi b'obubudamo abayiika nga enkuba mu ggwanga lyattu Yuganda batandise okufuuka ekizibu mu bitundu mwebabeera olw'okuba nga ebikozesebwa ku bitundu (Social Services)  ebibaddewo tebimala.

Eggwanga lyattu Yuganda kati wetwogerera lirina abanoonyi b'obubudamo akakadde kamu mu emitwalo ana (1.400.000) nga bano bava mu mawanga omuli South Sudan,Burundi, DRC ne Somalia era wano Minisita w'ategeerezza nti bano bafuuse kizubu eri eggwanga nga kyetaagisa obuyambi okuva mu mawanga amalala.

Ecweru bino abituuseeko ng'asinziira mu lukungaana lwa Bannamawulire ku yafeesi ya Ssaabaminisita, era n'akikkaatiriza nti ekivuddeko emberebezi bwetutabanguko obuli mu mawanga agatuliraanye.