Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing · 219 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM
News

Abamu abali mu MK Movement bannakigwanyizi – Pulezidenti Museveni

June 1, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nalabula nti abamu ku bantu abali mu kisinde kya mutabani we ekya MK Movement bwebali bannakigwanyizi abeenoonyeza ebyabwe.
Pulezidenti Museveni yategeezezza nti; “Mujjukira bweyali ajaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 48, waliwo okujjumbira kw’abamu ku bavubuka. Bwe nakyekenneenya, nakiraba nti kyava ku bunafu bw’enkola yaffe. Nakiraba nti kyali kiwayi ekyewaggula ku National Resistance Movement – NRM wabula ebintu ebimu Muhoozi byatamanyi nti abamu ku bano benoonyeza byabwe” Pulezidenti Museveni okwogera bino yabadde ayanukula omubaka eyavuddeyo nategeeza nti abo bonna abaggwa mu kamyufu mu 2021 bonna byeyunze ku MK Movement. Yayongeddeko nti ensonga ya Muhoozi eriwo olwobumu ku bunafu bwa NRM, nti era abamu ku Bavubuka bagendayo nga balowooza yeri essuubi.