Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing Simba FM Live

Abamerika bangi abaagala okusiga ssente mu Uganda naye batya obuli bw’enguzi obukudde ejjembe.

July 6, 2018 · Mubiru Ali

Ambasaddor wa Amerika mu Uganda Deborah Malac agamba nti Abamerika bangi abaagala okusiga ssente mu Uganda, naye obuli bw’enguzi obukudde ejjembe mu bakulembeze bubatiisa okuleeta ssente zaabwe.

Ono abadde mubikujjuko eby’omulundi ogwa 242 bukyanga Amerika efuna obwetwaze nga byabadde Kololo mu makaage.

Uganda ekwata kifo kya 151 ku nsi 180 ezisinga okulya enguzi mu nsi yonna ate nga mu East Africa ekwata kifo kya 3 nga eddirira Burundi ne South Sudan.

Yagambye nti Uganda bweba eyagala okukulaakulana yetaaga kusooka kumalawo nguzi.