Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 521 listening Simba FM Live

Abalya ez’abasomesa basindikiddwa mu nkomyo

September 10, 2020 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti evunaana abakenuzi n’abali b’enguzi Moses Nabende yavaayo nasindika abakulira ekitongole kya Micro Finance Support Center nga kino kiyamba okuwola n’okulakulanya bizinensi nga bano kigambibwa nti bezibika ssente Pulezidenti @Yoweri Kaguta Museveni zeyateekawo okuyamba ku basomesa okwekulakulanya nga obuwumbi 10 n’obukadde 800.
Abasindikiddwa ku alimanda kuliko John Peter Mujuni 51 , akulira eby’ensimbi, John Mwebembezi 51, omusomesa Joan Asiimwe Baryanuha 52 n’akulira okuwola ssente mu kitongole Julia Birungi 27.
Eyakuliddemu oludda oluwaabi Stanley Baine agamba nti wakati wa November 2019 ne August 2020 ku ofiisi z’ekitongole kino mu Kampala bano babba ssente obuwumbi 10 n’obukadde 800 ezaali ez’okuyamba abasomesa okwekulakulanya nga zateekebwa mu SACCO yaabwe.
Ssente zino zaweebwayo Pulezidenti Museveni eri abasomesa okwongera okwekulakulanya mu 2011 kyokka kigambibwa nti abakulu bano zonna baazezza olwo abasomesa ne baviiramu awo.