Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Abalwadde n’abajanjabi bekalakaasizza mu ddwaliro e Kasese

Abalwadde wamu n’ababajanjaba mu Ddwaliro lya Kasese Municipal Health Centre III basazeewo okwekalakaasa olw’abakulira eddwaliro okulemererwa okuwulira omulanga gwabwe ogw’eddwaliro obutabeera naddagala. Abalwadde abasanyalazza emirimu ku ddwaliro lino, bavudde mu mbeera nebakayuukira abasawo bebagamba nti babamalira obudde nga babajjako omusaayi naye nga bakimanyi bulungi nti eddwaliro teririna ddagala.

Bano bagamba nti babawa ddagala eriweweza ku bulumi, nebebalagira okugula eddagala eddala lyebetaaga okuva wabweru.

Omubaka wa Pulezidenti owa Disitulikiti y’e Kasese, Lt. Joel Walusimbi yatuuse ku ddwaliro lino era nakakasa nti ddala teririna ddagala.

Ye akulira eddwaliro lino, Dr James Muliwabyo, yakakasiza kino wabula nategeeza nti eddwaliro libadde lyakafuna eddagala ku nkomerero ya January 2020 wabula lyabaweddeko mangu olw’abalwadde abangi.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort