Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 615 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abalwadde mu ddwaliro e Kiboga bakukkulumira abasawo

January 2, 2017 · Mubiru Ali

Abalwadde mu ddwaliro ekkulu ery’e Kiboga bavuddeyo nebalaga obutali bumativu bwabwe olw’abasawo obutakola bulungi mirimu gyabwe. 

Kino kijjidde mu kiseera nga Meeya wa Tawuni Kanso y’e Kiboga, Haji Sulaiman Ssekiwunga abadde alambula abalwadde mu ddwaliro ly’e Kiboga erya Gavumenti .  Abalwadde bagamba nti abasawo babakana ensimbi  zebatalina so ate era  bwebaleeta abalwadde tebabakolako babeera mu busenge nga beebase.

Meeya Ssekiwunga yennyamidde olw’embeera eddwaliro gyerisangiddwamu era n’asaba ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’obulamu okuyingira mu nsonga zino nga ekiwundu tekinnasamba ddagala .