Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 300 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abalwadde batandise okwabulira amalwaliro ga Gavumenti

November 7, 2017 · Mubiru Ali

Abalwadde ku ddwaliro lya Gavumenti erya Mubende Referral Hospital batandise okwabulira  eddwaliro lino oluvannyuma lw'abasawo okwediima.

Safina Mukisa, Nakamate Jessica ne Muhumuza Amon abamu ku balwadde bategeezeza nti  abasawo mu ddwaliro bakedde kubategeeza nga bwe batagenda kubakolako era nebabategeeza nti bagezeeko  okunoonya awalala obujjanjabi era nabo kwekutandika okusiba engugu zaabwe baabulire eddwalio lino.

Kino kidirdde akeddimo ka abasawo akagenda mu maaso mu ggwanga mwe babanjiza Gavumenti okubongeza  omusaala era abamu ku basawo abataagadde ku baatuukiriza mannya, bategeezezza nti embeera gye bakoleramu mbi nnyo era nabo basaanye okwongerwa ku nsimbi basobole okuganyurwa mu ntuuyo zaabwe.