Abalunzi b’ente e Ssembabule batabuse

Abalunzi n’abasuubuzi b’ente mu Disitulikiti y’e Ssembabule batadde Ku nninga minisita w’ebyamagana “Animal Husbandry” annyonnyole Ku kirwisizzaawo kalantiini ekulungudde omwaka gumu n’ekitundu nga tebakola ne bamuwa ennaku musanvu zokka aggulewo obutale oba si kyo bagenda kuvaayo okwekalakaasa.

Bino bituukiddwako mu lukungaana lwe bakubye Ku Rainbow mu kabuga k’e Ssembabule nga bakulembeddwamu akulira abasuubuzi b’ente Moses Ninsiima ne balaga obutali bumativu bwabwe mu kiwandiiko kye bataddeko emikono nga bagamba nti tebakyalina nsimbi kuweerera baana ssaako poliisi okubakwata nga balina ente ze batunze.

Ye Akulira “production” mu Disitulikiti y’e Ssembabule Dr Emmanuel Kalungi Kawooya agamba nti mu mwezi gwa December baatuula ne Minisita W’ebyobutebenkevu Gen Elly Tumwine, owebyamagana Joy Kabasi ne kaminsona era mu alipoota baamwanjulira nti obulwadde bwaggwayo kyokka ne basabibwa okulindako bamale okwekeneenya era n’abasaba okulindako okwekalakaasa nga ku nkomerero y’omwezi guno bayinza okuggulawo obutale.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Enteekateeka zonna ziwedde, kati kulinda Paapa.